Bayibuli ey’Abaana Abato, etegekebwa okuyamba abaana abato okumanya Yesu Kristo, ng’ebawa ebinyumizibwa mu Bayibuli ebirimu ebifaananyi n’ebintu ebirala eby’eddiini. Bino bitegekebwa mu ngeri ezitali zimu era biyisibwa mu mikutu gy’empuliziganya egyenjawulo, omuli Omutimbagano gw’Empuliziganya Omugazi ogw’ Ensi yonna, essimu ey’omu ngalo, obuuma obw’entambi obwogera n’owuliriza, ebiwandiiko ebimpimpi eby’eddiini ebikubise mu kyapa nga biri mu langi, ebitabo by’ebifaananyi eby’okusiigamu langi. Ebyo byonna bitegekebwa mu nnimi ezenjawulo abaana abato ze basobola okwogera.
Ebinyumizibwa mu Bayibuli bino, bya kuweebwa baana bato akawumbi kamu mu obukadde lunaana (1,800,000,000) abali mu nsi yonna, awatali kubisasulira buli we kiba kisoboka.